Ezekiel 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kimu kyatambulanga butereevu, omwoyo gye gwagendanga nga gye biraga, tebyakyukanga nga bitambula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kimu kyagendanga butereevu omwoyo gye gwakirazanga awatali kukyuka nga kigenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kiramu kyagendanga butereevu omwoyo gye gubiraza, awatali kukyuka nga bigenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli kimu byagenda nga byesimbye: omwoyo gye gwabanga gugenda, gye byagenda; tebyakyuka bwe byagenda.