Ezekiel 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ndabika ebiramu bino nga bifaanana ng'amanda g'omuliro agengeredde oba ng'ebitawuliro ebyatawukanga nga biva eno bidda eri mu biramu. Omuliro nga guvaamu ekitangaala eky'amaanyi n'ebimyanso nga biva mu muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endabika ey’ebiramu ebyo yafaanana ng’omuliro ogwaka ogw’amanda oba omuliro ogw’omumuli. Omuliro gwavanga mu maaso n’emabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wakati w'ebiramu ebyo, waaliwo ekintu ekifaanana ng'amanda ag'omuliro agaaka ng'emimuli. Kyatambulanga ne kidda eno n'eri wakati mu biramu ebyo, era omuliro ogwo, gwayakanga nga guvaamu enjota.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wakati w'ebiramu ebyo ebina, waaliwo ekintu ekifaanana ng'amanda ag'omuliro agaaka ng'emimuli. Kyatambulanga ne kidda eno n'eri wakati mu biramu ebyo, era omuliro ogwo, gwayakanga nga guvaamu enjota.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekifaananyi ky'ebiramu ebyo, embala yaabyo yali ng'ebisiriiza eby'omuliro ebyaka, ng'embala ey'emimuli; yayambukanga n'ekkira wakati mu biramu ebyo: era omuliro nga gumasamasa ne mu muliro ne muva enjota.