Ezekiel 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mba ntunuulira ebiramu, ne ndaba nnamuziga emu ng'ekutte ku ttaka okumpi na buli kiramu eky'ebyenyi ebina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, n’ebyenyi byabyo ebina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe nnali nga ntunuulira ebiramu ebyo, ne ndaba nnamuziga nnya nga ziri ku ttaka, buli emu ng'eri ku mabbali ga buli kiramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nga nkyatunuulira ebiramu ebyo, ne ndaba nnamuziga nnya nga ziri ku ttaka, nnamuziga emu emu ku mabbali ga buli kiramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe nnali nga ntunuulira ebiramu ebyo, laba, nnamuziga ku ttaka ku mabbali g'ebiramu, buli bwenyi ku bwenyi bwabyo obuna nnamuziga omu.