Ezekiel 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enfaanana yaazo n'enkola byali bwe biti: nga zitemagana ng'ejjinja erya kirusolito, ate nga zonna ennya zifaanagana; ate mu nkola yaazo nga ziri nga namuziga omukiikiddwa nnamuziga ginnaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endabika eya zinnamuziga n’okukolebwa kwazo kwali nga berulo, zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnamuziga zonna zaali zifaanana, buli emu yali etangalijja ng'ejjinja ery'omuwendo, era ng'erabika ng'erimu nnamuziga endala wakati waayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnamuziga zonna ennya zaali zifaanana. Buli emu yali etangalijja ng'ejjinja ery'omuwendo, era ng'erabika ng'erimu nnamuziga endala wakati waayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Embala eya bannamuziga n'omulimu gwabwe baafaanana ebbala erya berulo: era abo abana baalina ekifaananyi kimu: n'embala yaabwe n'omulimu gwabwe byali nga nnamuziga ali wakati wa nnamuziga.