Ezekiel 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiramu bwe byatambulanga, nga ne nnamuziga zitambulira kumpi nabyo; ebiramu bwe byesitulanga okuva ku ttaka, nga ne nnamuziga zisituka;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebiramu bwe byatambulanga, nga ne nnamuziga zigendera ku mabbali gaabyo: era ebiramu bwe byasitukanga okuva ku ttaka, ne nnamuziga nazo nga zisituka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiramu ebyo bwe byatambulanga, nga nnamuziga zigendera ku mabbali gaabyo era bwe byasitukanga mu bbanga nga ne nnamuziga nazo zisituka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebiramu bwe byatambulanga, bannamuziga baatambuliranga ku mabbali gaabyo: era ebiramu bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga.