Ezekiel 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonna omwoyo gye gwagendanga nga gye biraga, ne nnamuziga nga zisitukirako, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwabanga mu nnamuziga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebiramu gye byayagalanga okugenda, nga gye bigenda, era nga ne nnamuziga nazo gye zigenda, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwali mu zo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiramu gye byayagalanga okugenda, nga gye bigenda, era nga ne nnamuziga nazo gye zigenda, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwali mu zo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo buli gye gwabanga gugenda, gye baagendanga; eyo omwoyo gye gwabanga gugenda: ne bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo; kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga.