Ezekiel 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiramu bwe byatambulanga, nga nazo zitambula, bwe byayimiriranga, nga nazo ziyimirira; bwe byasitukanga okuva ku ttaka, nga ne nnamuziga zisitukirako, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwabeeranga mu nnamuziga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yabanga mu zinnamuziga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo bwe byatambulanga, ne bano baatambulanga; era ebyo bwe byayimiriranga, ne bano baayimiriranga; era ebyo bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo: kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byatambulanga, oba bwe byayimiriranga, oba bwe byasitukanga mu bbanga, nga ne nnamuziga zikola kyekimu, kubanga omwoyo gwabyo gwali mu zo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)