Ezekiel 1:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate wansi w'olubaale nga waliyo ebiwaawaatiro byabyo ebyegolodde, ng'ekimu kyegololeredde eri kinne waakyo; buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri ebibisse omubiri gwakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wansi w’ekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era wansi w'ebbanga ebiwaawaatiro byabyo byali byegolodde, Buli kimu nga kigolodde ebiwaawaatiro bibiri nga bikoona ku bya kinnewaakyo ekikiriraanye, ate ebibiri ne kibyebikka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wansi w'ebbanga eryo ery'oku ggulu, we waali ebiramu ebyo, nga buli kimu kigolodde ebiwaawaatiro bibiri, ebiwaawaatiro ebyo ne bikoona ku bya kinnewaakyo ekikiriraanye, ate ebibiri ne kibyebikka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wansi w'ebbanga ebiwaawaatiro byabyo byali bigolokofu, ekimu kyalina bibiri ebyasaanikira eruuyi, na buli kimu kyalina bibiri ebyasaanikira eruuyi ku mibiri gyabyo.