Ezekiel 1:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiramu bwe byatambulanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro okuli ng'okuyira okw'amazzi amangi, ng'eddoboozi ly'Omuyinza wa buli kantu, ng'eddoboozi ery'okuyira, ng'okuwuuma kw'eggye. Bwe byayimiriranga, nga bissa ebiwaawaatiro byabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe byabuukanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo nga kulinga okuwuuma kw'amazzi amangi, ng'eddoboozi ly'Omuyinza w'ebintu byonna, era nga okw'oluyoogaano lw'eggye. Bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe byabuukanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo, nga biwuuma ng'okuyira kw'amazzi amangi, ng'oluyoogaano lw'eggye, era ng'eddoboozi ly'Omuyinzawaabyonna. Bwe byalekeranga awo okubuuka, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe byatambulanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, ng'eddoboozi ly'Omuyinza w'ebintu byonna, okuwuuma okw'oluyoogaano ng'okuwuuma kw'eggye: bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.