Ezekiel 1:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne wabaawo eddoboozi eriva waggulu w'olubaale olwali waggulu ku mitwe gyabyo; ne biyimirira ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo, ne wawulikika eddoboozi waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe byalekeranga awo okubuuka, era nga bissizza wansi ebiwaawaatiro byabyo, ne wabaawo eddoboozi mu bbanga ery'oku ggulu waggulu w'emitwe gyabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waaliwo eddoboozi waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo: bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.