Ezekiel 1:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
waggulu ku lubaale olwali waggulu ku mitwe gyabyo nga waliyo engeri ya nnamulondo mu jjinja erya saffiro, ate waggulu ku kiri nga nnamulondo nga kutuddeko ekifaanana ng'omuntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo waliwo ekyafaanana ng'entebe y'obwakabaka, ng'etemagana ng'ejjinja lya safiro, ate ku yo kwali kutuddeko afaanana ng'omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo, waaliwo ekifaanana ng'entebe ya kabaka, etemagana ng'ejjinja ery'omuwendo erya bbululu. Ku ekyo ekifaanana ng'entebe ya kabaka, kwali kutuddeko afaanana ng'omuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo kwaliko ekifaananyi eky'entebe, ng'embala ey'ejjinja eya safiro: ne ku kifaananyi eky'entebe kwaliko ekifaananyi ng'embala ey'omuntu ku yo waggulu.