Ezekiel 1:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalaba ng'okuva mu kyali ng'ekiwato kye okwambuka waggulu ng'ali ng'ekyuma ekyengeredde nga kifaanana ng'omuliro ogukyetoolodde, ate okuva mu kiwato okukka nalaba ng'ekyali ng'omuliro; ekitangaala ekyakaayakana kyali kimwetoolodde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba ng'amasamasa ng'ezaabu etabuddwamu effeeza, ng'ayaka ng'omuliro okwetooloola, okuva ku kiwato kye okwambuka. Ate okuva ku kiwato kye n'okukka, ne ndaba ekiri ng'omuliro, era waaliwo okumasamasa okumwetoolodde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waggulu okuva ku kyalabika ng'ekiwato kye, ne ndaba ng'amasamasa ng'ekikomo ekizigule, ekiri ng'omuliro ku njuyi zonna. Ate wansi okuva ku kyalabika ng'ekiwato kye, ne ndaba ekiri ng'omuliro, era nga waliwo okutangalijja wonna w'ali,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba ng'ebbala ery'ezaabu etabuddwamu effeeza, ng'embala ey'omuliro munda mu yo enjuyi zonna, okuva ku mbala y'ekiwato kye n'okwambuka; era okuva ku mbala y'ekiwato kye n'okukka, nalaba ng'embala ey'omuliro, era waaliwo okumasamasa okumwetoolodde.