Ezekiel 1:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga musoke abeera mu bire mu budde obw'enkuba, n'okutangalijja okwamwetooloolanga bwe kwali. Okwo kwe kwali okulabika kw'enfaanana y'ekitiibwa ky'Omukama. Bwe nakiraba ne ngwa ku ttaka nga neevuunise ku maaso gange, ne mpulira eddoboozi ly'omuntu ayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama. Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw'enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama. Awo bwe nnakiraba, ne nvuunama ku ttaka, ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okufaanana nga musoke mu kire ku lunaku olw'enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama. Bwe nakiraba, ne nneevuunika ku ttaka. Ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'embala eya musoke aba ku kire ku lunaku olw'enkuba, bw'etyo bwe yali embala ey'okumasamasa enjuyi zonna. Eno ye yali embala ey'ekifaananyi eky'ekitiibwa kya Mukama. Awo bwe nnakiraba, ne nvuunama amaaso gange, ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera.