Ezekiel 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekigambo ky'Omukama kyajja eri Ezekyeli kabona, mutabani wa Buzi, mu nsi y'Abakaludeya, okumpi n'omugga Kebari; omukono gw'Omukama gwamuliko eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ekigambo kya Mukama ne kijja eri Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey'Abakaludaaya ku mabbali g'omugga Kebali; amaanyi ga Mukama ne gajja ku ye eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nze Ezeekyeli kabona, mutabani wa Buuzi, Mukama n'ayogera nange nga ndi mu nsi eyo ey'Abakaludaaya, ku mabbali g'Omugga Kebari. Amaanyi ga Mukama ne gajja ku nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekigambo kya Mukama ne kijjirira ddala Ezeekyeri kabona mutabani wa Buuzi mu nsi ey'Abakaludaaya ku mabbali g'omugga Kebali; omukono gwa Mukama ne gubeera ku ye eyo.