Ezekiel 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe natunula, ne ndaba kikuŋŋunta ng'afulumye emambuka, n'ekire ekinene ekyetooloddwa ekitangaala eky'amaanyi nga kivaamu ebimyanso by'omuliro; mu muliro wakati mwali mwaka ng'ekyuma ekyengeredde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ntunula, ne ndaba embuyaga ekunta n'amaanyi ng'eva mu bukiikakkono. Ekire ekinene ekyetooloddwa okutangalijja, kyali kirimu omuliro ogw'ezingazinga ogumyansa obutasalako. Wakati mu muliro ogwo, mwalimu ekifaanana ng'ekikomo ekizigule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ntunula, ne ndaba embuyaga ey'amaanyi, ekunta ng'eva ebukiikakkono. Ekire ekinene ekyetooloddwa okutangalijja, kyali kirimu omuliro ogumyansa obutasalako. Wakati mu muliro ogwo, mwalimu ekifaanana ng'ekikomo ekizigule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ntunula, era, laba, embuyaga ezikunta olw'amaanyi ne zifuluma obukiika obwa kkono, ekire ekinene n'omuliro ogw'ezingazinga n'okumasamasa okukyetoolodde, era mu gwo wakati ne muva ng'ebbala erya zaabu etabuddwamu effeeza, eriva mu muliro wakati.