Ezekiel 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate mu makkati gaagwo nga mulimu ebifaanana ng'ebiramu ebina. Byali bifaanana bwe biti: Byalina endabika ng'ey'omuntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu gwo wakati ne muva ekifaananyi eky'ebiramu bina. By'ali birabika ng'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kyo wakati, ne ndabamu ebifaanana ng'ebintu ebiramu bina, ebirabika ng'abantu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu gwo wakati ne muva ekifaananyi eky'ebiramu bina. N'embala yaabyo yali bw'eti; byalina ekifaananyi eky'omuntu.