Ezekiel 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wansi mu biwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya ng'eriyo emikono gy'omuntu. Byonna ebina byalina ebyenyi n'ebiwaawaatiro;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Byalina engalo ez’omuntu wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wansi w'ebiwaawaatiro byabyo ku mbiriizi zaabyo ennya, byalina emikono ng'egy'abantu: ebyo ebina byalina obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo bwe bityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu ebyo ebiramu ebina ebyalina obwenyi n'ebiwaawaatiro, era byalina emikono ng'egy'abantu, nga giri wansi w'ebiwaawaatiro byabyo, ku njuyi zaabyo ennya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era byalina emikono gy'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabyo ku mbiriizi zaabyo ennya: era ebyo ebina byalina obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo bwe biti;