Ezekiel 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe natunula, ne ndaba nga waggulu ku lubaale, olwali waggulu ku mitwe gya bakerubi, waliyo ekiri ng'ejjinja lya saffiro, nga kyefaanaanyiriza nnamulondo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ntunula, laba, ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka eya safiro nga kiri waggulu w’ekibangirizi w’emitwe gya bakerubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ntunula, ne ndaba mu bbanga eryali waggulu w'emitwe gy'abakerubi, ekifaanana ng'entebe ey'obwakabaka ekoleddwa mu jjinja lya safiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe natunula mu bbanga eryali waggulu w'emitwe gy'abakerubi, ne ndaba waggulu waabwe ekifaanana ng'entebe ey'obwakabaka ekoleddwa mu jjinja eriyitibwa Safiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ntunula, era, laba, mu bbanga eryali waggulu w'omutwe gwa bakerubi ne walabika waggulu waabwe ng'ejjinja erya safiro ng'embala ey'ekifaananyi eky'entebe.