Ezekiel 10:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe zaatambulanga, nga zigenda ku njuyi ennya bakerubi gye baabanga batunudde; nnamuziga tezaawetanga bakerubi bwe baatambulanga. Bakerubi bagendanga ku ludda emitwe gyabwe gye gyabanga gitunudde, nga tebamala kukyuka nga bagenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kuseeseetuka, zaaseeseetukanga mu njuyi nnya bakerubi gye baatunulanga, era zinnamuziga z’omu maaso gye zaayiringitiranga, n’endala zonna gye zaayiringitiranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kutambula, bakerubi baayinzanga okugenda ku buli ludda lwa zo ennya, nga tebamaze kukyuka, wabula buli mutwe gwabwe gye gutunudde nga gye bagenda, awatali kumala kukyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kutambula, bakerubi baayinzanga okugenda ku buli ludda, ku njuyi zaazo zonna ennya, nga tebamaze kukyuka balyoke bagende, wabula nga bwe baagala okugenda, buli omutwe gwabwe gye gutunudde nga gye bagenda, awatali kumala kukyuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baatambulanga, ne batambulira ku mbiriizi zaabwe ennya: tebaakyuka bwe baatambula, naye mu kifo omutwe gye gwatunulanga, ne bagugobereranga tebaakyuka bwe baatambula.