Ezekiel 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubiri gwabwe gwonna n'omugongo n'emikono n'ebiwaawaatiro ne nnamuziga zonna ez'abana byali bijjudde maaso wonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubiri gwabwe gwonna, n’emigongo gyabwe, n’emikono gyabwe, n’ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga, nga zijjudde amaaso enjuuyi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubiri gwabwe gwonna n'amabega gaabwe n'emikono gyabwe n'ebiwaawaatiro byabwe ne zinnamuziga zaabwe ezo ennya, nga bijjudde amaaso enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubiri gwabwe gwonna, n'amabega, n'emikono n'ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga zaabwe ezo ennya ze baalina, byali bijjudde amaaso enjuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omubiri gwabwe gwonna n'amabega gaabwe n'emikono gyabwe n'ebiwaawaatiro byabwe ne bannamuziga byali bijjudde amaaso enjuyi zonna, bannanuziga abo abana be baalina.