Ezekiel 10:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakerubi ne basituka, bano be baali ebiramu biri bye nali ndabye ku mugga Kebari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakerubi ne basituka. Bye biramu bye nalaba ku mabbali g’omugga Kebali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakerubi ne babuuka ne bagenda waggulu mu bbanga. Ebyo bye biramu bye nnalaba ku mabbali g'omugga Kebali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakerubi abo ne babuuka ne bagenda waggulu mu bbanga. Bakerubi abo bye biramu bye nali ndabidde ku mabbali g'Omugga Kebari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bakerubi baalinnya waggulu: ekyo kye kiramu kye nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali.