Ezekiel 10:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakerubi bwe baatambulanga, nga ne nnamuziga eziri okumpi nabo zitambula; bakerubi bwe baasitulanga ebiwaawaatiro byabwe, basitule okuva ku ttaka, nnamuziga zo nga tezikyuka awo okumpi nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakerubi bwe baaseeseetukanga, zinnamuziga ezaali ku mabbali ne ziseeseetukira wamu nabo; bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okusituka okuva ku ttaka, zinnamuziga nazo tezaavanga ku lusegere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakerubi bwe baabuukanga ne zinnamuziga ne zigendera ku mabbali gaabwe. Bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okubuuka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga zalinga ku mabbali gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakerubi abo bwe baabuukanga ne bagenda mu bbanga, zinnamuziga ne zigendera ku mabbali gaabwe. Bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okubuuka okuva ku ttaka, era zinnamuziga zaagendanga nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bakerubi bwe baatambulanga, bannamuziga ne batambulira ku mabbali gaabwe: era bakerubi bwe baayimusanga ebiwaawaatiro byabwe okulinnya okuva ku ttakka, so ne bannamuziga tebaakyukanga okuva ku mabbali gaabwe.