Ezekiel 10:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baayimiriranga, nga ziyimirira; bwe baasitukanga, nga zisituka wamu nabo, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwabeeranga mu zo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakerubi bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira; bakerubi bwe baasitukanga, nnamuziga ne zisitukira wamu nabo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yali mu zo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakerubi bwe baayimiriranga nga nazo ziyimirira; era bwe babuukanga waggulu mu bbanga nga nazo zibuukira wamu nabo: kubanga omwoyo gw'ebiramu ebyo gwali mu zo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira, era bwe baabuukanga waggulu mu bbanga nazo ne zibuuka wamu nabo, kubanga omwoyo gw'ebiramu ebyo gwali mu zo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bwe baayimiriranga, ne bano ne bayimirira; era bo bwe balinnyanga waggulu, ne bano ne balinnyira wamu nabo: kubanga omwoyo gw'ekiramu gwali mu bo.