Ezekiel 10:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nali nkyatunuulidde, bakerubi ne basitula ebiwaawaatiro byabwe ne bava ku ttaka. Bwe baagenda, ne nnamuziga ne zibagoberera. Ne bayimirira mu muzigo gw'omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'Ekiggwa ky'Omukama; ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli kyali waggulu waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olw’ebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, n’ekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakerubi ne banjuluza ebiwaawaatiro byabwe ne babuuka okuva ku ttaka nga ndaba, ne zinnamuziga ne zigendera ku mabbali gaabwe, baayimirira ku luggi olw'omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama, ng'Ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakerubi ne banjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne babuuka okuva ku ttaka nga ndaba, ne zinnamuziga ne zigenda wamu nabo. Ne bayimirira ku luggi lw'Omulyango Ogw'ebuvanjuba ogw'Essinzizo, ng'ekitangaala ky'Ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli kibali waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bakerubi baayimusa ebiwaawaatiro byabwe ne balinnya okuva ku ttaka nze nga ndaba bwe baafuluma, ne bannamuziga ku mabbali gaabwe: era baayimirira ku luggi olw'omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama; era ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu.