Ezekiel 10:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba omusajja eyali ayambadde engoye eza kitaani nti: “Yingira mu makkati ga nnamuziga eziri wansi wa bakerubi, emikono gyo ogijjuze amanda ag'omuliro agali wansi wa bakerubi, ogamanse ku kibuga.” N'ayingira nange nga ntunula bwe nti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba omusajja ayambadde linena nti, “Genda wakati wa zinnamuziga wansi wa bakerubi, otoole amanda mu mukono gwo okuva wakati mu bakerubi, ogasaasaanye mu kibuga.” N’ayitawo nga ntunula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'agamba omusajja ayambadde bafuta nti, “Yingira wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wansi wa bakerubi, ojjuze ebibatu byo byombi amanda ag'omuliro agava wakati wa bakerubi, ogamansire ku kibuga.” Awo n'ayingira nga ndaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru nti: “Yingira wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wansi w'abakerubi, oggyeyo amanda agakoledde omuliro, agajjuza ebibatu byo byombi, ogamansire ku kibuga.” N'ayingira nga mmulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba omusajja ayambadde bafuta n'ayogera nti Yingira wakati wa bannamuziga abeetooloola abawulukuka, wansi wa kerubi, ojjuze ebibatu byo byombi ebisiriiza eby'omuliro ebiva wakati wa bakerubi, obimansire ku kibuga. Awo n'ayingira nze nga ndaba.