Ezekiel 10:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enfaanana yaabyo mu maaso ng'eri ng'eya biri bye nalaba ku mugga Kebari. Ate buli kimu kyatambulanga butereevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obwenyi bwabwe bwanfaananira nga buli bwe nalaba ku mugga Kebali. Buli omu n’atambula n’agenda mu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era endabika y'obwenyi bwabwe, yali ddala ng'ey'obwenyi bwe nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali. Mu ndabika yaabwe yennyini baatambulanga beesimbye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endabika y'obwenyi bwabwe yali ddala ng'obwenyi bwe nalabira ku mabbali g'Omugga Kebari. Mu ndabika yaabwe yennyini, baatambulanga beesimbye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekifaananyi eky'obwenyi bwabwe, bwe bwali obwenyi bwe nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali, embala zaabwe nabo bennyini; bonna baatambulanga nga beesimba.