Ezekiel 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitiibwa ky'Omukama ne kisituka okuva waggulu w'abakerubi ne kidda ku mulyango gw'Ekiggwa. Ekiggwa ne kijjula ekire, n'oluggya ne lujjula okwakaayakana kw'ekitiibwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekitiibwa kya Mukama ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, n’oluggya ne lujjula okumasamasa okw’ekitiibwa kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva ku bakerubi, ne kiyimirira waggulu ku mulyango ogw'ennyumba; ennyumba n'ejjula ekire, oluggya ne lujjula okumasamasa okw'ekitiibwa kya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitangaala ekimasamasa eky'ekitiibwa kya Mukama ne kisituka okuva ku bakerubi, ne kiyimirira waggulu ku mulyango gw'Essinzizo, Essinzizo lyonna ne lijjula ekire, oluggya ne lujjula ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva ku kerubi, ne kiyimirira waggulu ku mulyango ogw'ennyumba; ennyumba n'ejjula ekire, oluggya ne lujjula okumasamasa okw'ekitiibwa kya Mukama.