Ezekiel 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okupaapaala kw'ebiwaawaatiro by'abakerubi kwali kuwulirwa n'eri mu luggya olw'ebweru, ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinza wa buli kantu bw'aba ayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuwuuma kw’ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olw’ebweru, ng’eddoboozi lya Mukama ow’Eggye bwe liwulikika ng’ayogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okuwuuma kw'ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulirwa ne mu luggya olw'ebweru, nga kuli ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinza w'ebintu byonna bw'ayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuwuuma kw'ebiwaawaatiro by'abakerubi ne kuwulirwa ne mu luggya olw'ebweru, nga kuli ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinzawaabyonna bw'aba ng'ayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okuwuuma kw'ebiwaawaatiro bya kerubi ne kuwulirwa okutuuka ne mu luggya olw'ebweru, ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinza w'ebintu byonna bw'ayogera.