Ezekiel 10:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yalagira omusajja eyali ayambadde engoye eza kitaani nti: “Ggya omuliro mu makkati ga nnamuziga wakati mu bakerubi,” oli n'ayingira, n'ayimirira okumpi ne nnamuziga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde linena nti, “Toola omuliro okuva mu zinnamuziga, wakati mu bakerubi,” omusajja n’ayingira n’ayimirira ku mabbali ga nnamuziga emu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde bafuta nti, “Ggya omuliro wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wakati wa bakerubi,” omusajja n'ayingira n'ayimirira ku mabbali ga nnamuziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru nti: “Ggya omuliro wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wakati w'abakerubi,” omusajja n'ayingira, n'ayimirira ku mabbali ga nnamuziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yalagira omusajja ayambadde bafuta ng'ayogera nti Ggya omuliro wakati wa bannamuziga abeetooloola abavulukuka wakati wa bakerubi, n'ayingira n'ayimirira ku mabbali ga mamuziga.