Ezekiel 10:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukerubi omu n'agolola omukono n'atuuka ku muliro ogwali wakati w'abakerubi, n'agussa mu mikono gy'oli eyali ayambadde engoye eza kitaani, ye n'agukwata, n'afuluma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku bakerubi n’agolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi, n’addira ogumu ku gwo, n’aguteeka mu ngalo ez’omusajja ayambadde linena, eyagutwala n’afuluma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omu ku bakerubi n'agolola omukono gwe ng'ayima wakati wa bakerubi, n'atoola omuliro ogwali wakati wa bakerubi n'aguteeka mu bibatu by'oyo ayambadde bafuta, oyo n'agutoola n'afuluma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu ku bakerubi n'agolola omukono gwe ng'asinziira wakati w'abakerubi, n'atoola ku muliro ogwali wakati w'abakerubi, n'aguteeka mu bibatu by'oyo ayambadde ebyambalo ebyeru. Oyo n'agutwala, n'afuluma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kerubi n'agolola omukono gwe ng'ayima wakati wa bakerubi eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi n'atwalako, n'aguteeka mu mikono gy'oyo ayambadde bafuta, oyo n'agutoola n'afuluma.