Ezekiel 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe natunula, ne ndaba nnamuziga nnya okumpi ne bakerubi, nnamuziga emu ng'eri kumpi n'omukerubi omu, ne namuziga endala kumpi n'omulala; mu nfaanana namuziga nga zitemagana ng'ejjinja lya kirusolito.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi buli nnamuziga ng’eriraanye kerubi, zinnamuziga nga ziyakaayakana ng’ejjinja erya berulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ntunula, era, laba, bannamuziga bana nga bali ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga emu nga eri mabbali ga kerubi omu, ne nnamuziga endala nga eri mabbali ga kerubi omulala: n'embala eya zinnamuziga yali ng'efaanana ejjinja lya berulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe natunula, ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga emu emu ku mabbali ga buli kerubi. Zinnamuziga ezo zaali zifaanana ng'amayinja ag'omuwendo agayitibwa berulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ntunula, era, laba, bannamuziga bana nga bali ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga omu ng'ali ku mabbali ga kerubi omu, ne nnamuziga omulala ng'ali ku mabbali ga kerubi omulala: n'embala eya bannamuziga yali ng'ebbala ery'ejjinja erya berulo.