Ezekiel 11:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omwoyo ne gunsitula, ne guntwala ku mulyango gw'ennyumba y'Omukama ogutunudde ebuvanjuba; awo ku muzigo gw'omulyango waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano. Mu bo ne ndabamu Yaazaniya mutabani wa Azzuri ne Pelatiya mutabani wa Benaaya, abakulembeze mu ggwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate Omwoyo ne gunsitula ne guntwala eri omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama ogutunuula ebuvanjuba: kale, laba, ku luggi olw'omulyango nga kuliko abasajja abiri mu bataano (25), nga wakati mu bo mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwoyo wa Mukama era n'ansitula n'antwala ku Mulyango Ogw'ebuvanjuba ogw'Essinzizo, ogutunula ebuvanjuba. Eyo ku mulyango ogwo we guggulira, ne ndabayo abasajja amakumi abiri mu bataano, nga mu bo mulimu ne Yaazaniya mutabani wa Azzuri, ne Pelatiya mutabani wa Benaaya, abakulembeze b'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate omwoyo ne gunsitula ne guntwala eri omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama ogutunuulira ebuvanjuba: kale, laba, ku luggi olw'omulyango nga kuliko abasajja amakumi abiri mu bataano; ne ndaba wakati mu bo Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakungu ab'omu bantu.