Ezekiel 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulimanya nti nze Mukama, kubanga ebiragiro byange temwabigoberera n'amateeka gange temwagakwata, wabula empisa z'amawanga agabeetoolodde ze mwatwala ng'ekyokulabirako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulitegeera nga nze Mukama, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale mulimanya nga nze Mukama: kubanga temutambulidde mu mateeka gange, era temutukirizza biragiro byange, naye mukoze ebyo eby'amawanga agabeetoolodde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mulimanya nga Nze Mukama, era nga mu kukolera ku biragiro by'ab'amawanga agabeetoolodde, mujeemedde amateeka gange, era temutuukirizza bye mbakuutira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe nnalagula, Peratiya mutabani wa Benaya n'afa. Awo ne nvuunama amaaso gange, ne nkaaba n'eddoboozi ddene ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! onoomaliwaro ddala ekitundu kya Isiraeri ekifisseewo?