Ezekiel 11:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mba nkyalanga, Pelatiya mutabani wa Benaaya n'afa; ne ngwa nga neevuunise ku maaso gange, ne ndeekaana nti: “Yii, ayi Mukama Katonda, onoomalirawo ddala bonna abaasigalawo mu Yisirayeli?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba n’eddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bwe nali nga nkyayogera ebigambo ebyo, Peratiya mutabani wa Benaya n'afa. Awo ne ngwa wansi nga nneevuunise, ne nkaaba n'eddoboozi ddene ne ŋŋamba nti, “Woowe, Mukama Katonda! onoomalirawo ddala ekitundu kya Isiraeri ekyasigalawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, bwe nali nga nkyalanga ebyo, Pelatiya mutabani wa Benaaya n'afa. Ne ngwa ku ttaka nga nneevuunise, ne ndeekaana mu ddoboozi ery'omwanguka, ne ŋŋamba nti: “Woowe, ayi Mukama, Katonda! Onoomalirawo ddala Abayisirayeli abasigaddewo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti