Ezekiel 11:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, baganda bo, abo ab'oluganda lwo, ab'omusaayi gwo, ennyumba ya Yisirayeli yonna, be bo abasula mu Yeruzaalemu, be boogera nti: ‘Beesuubye Omukama; ffe ensi eyo yatuweebwa ng'eyaffe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, baganda bo, baganda bo ab’enda yo n’ennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu ab’omu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne Mukama, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Omwana w'omuntu, baganda bo, n'ab'eggwanga lyammwe bwe muli mu buwaŋŋanguse, n'ennyumba yonna eya Isiraeri, abantu ababeera mu Yerusaalemi baboogerako nga bagamba nti, ‘mmwe muvudde awali Mukama, era nti bo Mukama b'awadde ensi okuba obutaka bwabwe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, baganda bo, n'ab'eggwanga lyammwe bwe muli mu buwaŋŋanguse, be Bayisirayeli bonna, abantu ababeera mu Yerusaalemu baboogerako nga bagamba nti mmwe muvudde awali Mukama, era nti bo Mukama b'awadde ensi eyo ebe yaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga nabajjulula ne mbatwala wala mu mawanga, era kubanga mbasaasaanyizza mu nsi nnyingi era naye ndiba gye bali ekifo ekitukuvu ekiseera ekitono mu nsi gye batuuse.