Ezekiel 11:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: ‘Newandibadde nabatwala wala mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi, naye okumala akabanga nze mbadde ekitukuvu kyabwe mu mawanga gye baalaga.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale yogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga nnabajjulula ne mbatwala ewala mu mawanga, era mbasaasaanyizza mu nsi nnyingi, naye n'eyo nja kubeera Katonda waabwe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano tegeeza abo bwe muli mu buwaŋŋanguse nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti newaakubadde nga nabaggya mu nsi yaabwe ne mbatwala ewala mu mawanga, ne mbasaasaanyiza mu nsi nnyingi, naye mu kiseera kino ekiriwo nja kubeera wamu nabo mu nsi ze balimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga, ne mbayoola okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, era ndibawa ensi ya Isiraeri.