Ezekiel 11:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno gamba nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kubakuŋŋaanya mbaggyeyo eyo yonna mu mawanga gye mwasaasaanira, ndiddamu okubawa ensi ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bategeeze nti, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ‘Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga, ne mbayoola okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, ne mbawa ensi ya Isiraeri.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale bategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga, ne mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, era ndibawa ensi ya Yisirayeli.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balijjayo, ne baggyawo ebintu byayo byonna eby'ebivve n'emizizo gyayo gyonna ne bagimalayo.