Ezekiel 11:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baligiddamu, ne baggyamu byonna ebigwagwa n'ebyenyinyalwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe balikomawo baliggyawo ebintu byonna eby'ebivve n'emizizo ne babimalawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe balikomawo, baliggyayo ebintu byonna eby'ekivve n'ebyenyinyalwa bye balisangawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibawa omutima gumu, era nditeeka omwoyo omuggya mu mmwe; era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mutima gwabwe, ne mbawa omutima ogw'ennyama: