Ezekiel 11:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibawa omutima gumu, ndibassaamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw'ejjinja ne mbawa omutima ogw'ennyama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibawa omutima gumu, era nditeeka omwoyo muggya mu mmwe; era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mutima gwabwe, ne mbawa omutima ogw'ennyama:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibawa omutima omuggya n'endowooza empya. Ndiggya mu bo omutima omukalubo ng'ejjinja, ne mbawa omutima omuwulize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
balyoke batambulirenga mu mateeka gange ne bakwata ebyo bye nnassaawo ne babikola: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe.