Ezekiel 11:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, bano be basajja abateesa eby'akabi era abawa amagezi amabi mu kibuga kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, bano be basajja abagunja obutali butuukirivu, era abawa amagezi amabi mu kibuga kino:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, bano be bantu abateesa okukola ebibi, era abawa amagezi amabi mu kibuga kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, bano be basajja abagunja obutali butuukirivu, era abawa okuteesa okubi mu kibuga kino: