Ezekiel 11:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo baligoberera amateeka gange ne bakwata ebiragiro byange; balibituusa. Balibeera bantu bange nange ndibeera Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
balyoke batambulirenga mu mateeka gange era bakwatenga era bakolenga byonna byenabalagira: banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo banaakwatanga amateeka gange, bakolenga bye nabalagira. Banaabanga bantu bange, nze ne mba Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abo, omutima gwabwe gutambula okugoberera omutima ogw'ebintu byabwe eby'ebivve n'emizizo gyabwe, ndireeta ekkubo lyabwe ku mitwe gyabwe bo, bw'ayogera Mukama Katonda.