Ezekiel 11:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abo ab'omutima ogutambulira mu bigwagwa byabwe n'ebyenyinyalwa, ndissa ku mitwe gyabwe ebyo bye baakola, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abo abanaagoberera ebintu byabwe eby'ebivve n'emizizo ndibabonereza, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abo kaakano abamalidde omutima gwabwe ku by'ekivve n'ebyenyinyalwa, ndibabonereza olw'ebibi bye bakola. Bwe ntyo bwe ŋŋamba Nze Mukama Afugabyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakerubi ne balyoka bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ne bannamuziga nga bali ku mabbali gaabwe; n'ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu.