Ezekiel 11:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakerubi ne basitula ebiwaawaatiro byabwe ne nnamuziga nga ziri mu mbiriizi zaabwe, ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli kyali waggulu ku bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ng’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakerubi ne balyoka bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe; n'ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakerubi ne basitula ebiwaawaatiro byabwe ne babuuka mu bbanga, ne zinnamuziga nga zibali ku mabbali, n'ekitangaala eky'ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli kyali ku bo waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva wakati mu kibuga, ne kiyimirira ku lusozi oluli ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvanjuba.