Ezekiel 11:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitiibwa ky'Omukama ne kyambuka nga kiva mu kibuga wakati, ne kiyimirira ku lusozi oluli mu buvanjuba bw'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitiibwa kya Mukama ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu w’olusozi oluli ku luuyi olw’ebuvanjuba w’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva wakati mu kibuga, ne kiyimirira ku lusozi oluli ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitangaala eky'ekitiibwa kya Mukama ne kisituka ne kiva wakati w'Ekibuga, ne kiyimirira ku lusozi oluli ku ludda lw'ekibuga olw'ebuvanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo ne gunsitula ne guntwalira mu kwolesebwa olw'omwoyo gwa Katonda e Bukaludaaya eri ab'obusibe. Awo okwolesebwa kwe nnali ndabye ne kulinnya okunvaako.