Ezekiel 11:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo w'Omukama n'ansitula, mu kulabikirwa okwo okwampeebwa mwoyo w'Omukama, n'antwala mu Kaludeya eri abawaŋŋangusibwa; awo n'okulabikirwa kwe nali ndabye ne kuva we ndi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo gwa Katonda ne gunsitula ne guntwalira mu kwolesebwa mu basibe abaali mu Bakaludaaya. Awo okwolesebwa kwe nnali ndabye ne kukoma awo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kulabikirwa, Mwoyo wa Katonda n'ansitula, n'ankomyawo eri abaali mu buwaŋŋanguse e Babilooniya. Olwo ebyo bye nalabira mu kulabikirwa ne bikoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne njogera n'ab'obusibe ebigambo byonna Mukama bye yali andaze.