Ezekiel 11:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'Omukama ne gunzijako, ne guŋŋamba ŋŋambe nti: “Omukama kino ky'agamba: Bwe mutyo bwe mulowooza, mmwe nnyumba ya Yisirayeli! Mmanyi bye mulowooza mu mitima gyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo wa Mukama n’anzikako, n’aŋŋamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Omwoyo gwa Mukama ne gunzikako, n'aŋŋamba nti, “Yogera nti: Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ayi ennyumba ya Isiraeri, naye mmanyi bye mulowooza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mwoyo wa Mukama n'ajja ku nze, n'aŋŋamba nti: “Yogera nti Mukama agamba nti: ‘Mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, mmanyi bye mugamba, ne bye mulowooza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo gwa Mukama ne gungwako, n'aŋŋamba nti Yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutyo bwe mwogedde, ai ennyumba ya Isiraeri; kubanga mmanyi ebigambo ebiyingira mu mwoyo gwammwe.