Ezekiel 11:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Abantu mmwe be mwatta ne mumansa mu kibuga wakati ye nnyama ate ekibuga kye kitamu; naye nzija kukibagobamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, n’ekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava agamba bw'ati nti, “Abo bemuttidde wakati mu kyo, ye nnyama, n'ekibuga ye ntamu: naye mmwe ndikibagobamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti ddala ekibuga ntamu, era abantu be mutirimbula ne bagaŋŋalama mu kyo, abo ye nnyama. Naye mmwe ndikibagobamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Abammwe abattibwa be mutadde wakati mu kyo, abo ye nnyama, n'ekibuga ye ntamu: naye mmwe muliggibwa wakati mu kyo.