Ezekiel 11:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubagoba mu kibuga, mbaweeyo mu mikono gy'abagwira, bo balibabonereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibaggya wakati mu kyo, ne mbawaayo mu mikono gya bannamawanga, era mbabonereza olw'emisango gye mwazza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibaggya mu kibuga kino, ne mbawaayo mu mikono gy'abagwira, ne mbabonereza olw'emisango gye mwazza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibaggya wakati mu kyo, ne mbawaayo mu mikono gya bannaggwanga, era ndituukiriza mu mmwe emisango.