Ezekiel 12:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Bino bikwata ku mulangira ali mu Yeruzaalemu ne ku nnyumba yonna eya Yisirayeli abali eyo’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, obubaka buno bukwata ku mufuzi ali mu Yerusaalemi, n’abantu ba Isirayiri bonna abaliyo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Omugugu guno gwa mulangira wa mu Yerusaalemi n'ennyumba yonna eya Isiraeri eri omwo
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bategeeze ekyo Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Obubaka buno bwa kabaka afuga mu Yerusaalemu, era bwa Bayisirayeli bonna abali mu Yerusaalemu omwo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omugugu guno gwa mulangira wa mu Yerusaalemi n'ennyumba yonna eya Isiraeri be balimu.