Ezekiel 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambe nti ‘Nze ndi kabonero gye muli.’ Kye nkoze kye kiribakolebwa; bagenda kuwaŋŋangusibwa ng'abasibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’ “Nga bwe nkoze, nabo bwe balikibakola. Baliwaŋŋangusibwa ne batwalibwa nga bawambe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yogera nti, ‘Nze ndi kabonero kammwe: nga bwe nkoze, bwe batyo bwe balikolwa: baligobebwa okuva ewaabwe bagende mu busibe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bategeeze nti ky'okoze, ke kabonero k'ekyo ekigenda okubatuukako: baligobebwa ewaabwe, ne bagenda mu buwaŋŋanguse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera nti Nze ndi kabonero kammwe: nga bwe nkoze, bwe batyo bwe balikolwa: baligobebwa ewaabwe okugenda mu busibe.